Psalms 22:27-31


27 aEnsi zonna zirijjukira
ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
birimuvuunamira.
28 bKubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
era y’afuga amawanga gonna.

29 cAbagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
abatakyali balamu.
30 dEzadde lyabwe lirimuweereza;
abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31 eN’abo abatannazaalibwa
balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
“Ekyo yakikoze.”
Copyright information for LugEEEE